Exodus 31

Okulondebwa kw’Abakozi

1Awo Mukama n’agamba Musa nti, 2 a“Laba, nnonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda; 3 bera mmujjuzza Omwoyo wa Katonda, n’okumanya, n’obusobozi n’amagezi mu kukola ebitali bimu ebyemikono 4okutetenkanya ebintu ebinaakolebwa mu zaabu ne ffeeza n’ekikomo, nga bwe binaafaanana, 5okwola amayinja n’okugategeka, n’okwola emiti, era n’okukola byonna ebyemikono ebya buli ngeri. 6Ate mmulondeddeko Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki, ow’omu kika kya Ddaani, okumuyamba.

“Era abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri, mbawadde amagezi okukola bino byonna bye nkulagidde:

7 c“Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu,
n’Essanduuko ey’Endagaano n’ekibikkako eky’entebe ey’okusaasira,
awamu n’ebikozesebwa byonna mu Weema ya Mukama,
8 demmeeza n’ebigenderako,
ekikondo ekya zaabu omuka eky’ettaala n’ebigenderako,
n’ekyoto eky’obubaane,
9n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebigenderako,
n’ebbensani ne kw’etuula;
10 en’ebyambalo ebyalukibwa obulungi,
ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni, kabona,
n’ebyambalo bya batabani be bye baweererezaamu mu bwakabona;
11 fn’amafuta ag’okufukibwa, n’ebyakaloosa akalungi ak’omu Kifo Ekitukuvu.

“Byonna babikole nga bwe nakulagira.”

Ssabbiiti

12Awo Mukama n’agamba Musa nti, 13 g“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Munaateekwanga okukuuma Ssabbiiti zange, kubanga ako ke kabonero akanaabeeranga wakati wammwe nange mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nga Nze Mukama, Nze mbatukuza.

14 h“ ‘Munaakuumanga Ssabbiiti, kubanga lunaku lutukuvu. Buli anaaluweebuulanga waakufa; ne buli anaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo waakuggibwa mu bantu be, attibwe. 15 iEmirimu ginaakolwanga mu nnaku mukaaga, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula, lunaku lwa Mukama lutukuvu. Buli anaakolanga omulimu ku lunaku lwa Ssabbiiti wa kuttibwa. 16Noolwekyo abaana ba Isirayiri banaakumanga olunaku lwa Ssabbiiti, nga balujjukira mu mirembe gyabwe gyonna, ng’endagaano etaggwaawo. 17 jKanaabeeranga kabonero wakati wange n’abaana ba Isirayiri emirembe gyonna, akalaga nti Mukama yakola eggulu n’ensi mu nnaku mukaaga, ne ku lunaku olw’omusanvu n’alekeraawo okukola, n’awummula.’ ”

18 kAwo Mukama bwe yamaliriza okwogera ne Musa ku lusozi Sinaayi, n’awa Musa ebipande bibiri eby’amayinja, eby’Endagaano Katonda gye yawandiika n’engalo ye, ye kennyini.

Copyright information for LugEEEE